Rosary of the seven sorrows in luganda

แชร์
ฝัง
  • เผยแพร่เมื่อ 10 ก.ย. 2024
  • SSAPPULE EY'E BIBONYOBONYO OMUSANVU EBYA BIKIRA MARIA OMUBEEREREVU
    (SEVEN SORROWS OF ROSARY)
    Mu linnya lya Patri ne lya Mwana ne lya Mwoyo Mutuukirivu.
    Amiina.
    Ayi Katonda, jangu onnyambe.
    Ayi Mukama, yanguwa okunyamba.
    -Ekitiibwa kibe ekya Patri...
    -Nzikiriza Katonda.......
    ESSAALA EYANJULA;
    Katonda wange nkutonera essapule eno
    Ey'ebibonyobonyo omusanvu ku lwokugaziya ekitiibwa kyo, n'olwokusaamu Maama wo Omutukuvu ennyo ekitiibwa nja kwebuulirira ku kubonaabonaakwe era nkugabaneko.
    Nkusaba nga oyima ku maziga ago geyayiwanga mu budde obwo obuzibu, ompe wamu n'abanoonyi bonna enneema ez'okubonerera ebibi byaffe.
    "Mpa wamu n'abonoonyi bonna okubonerera okujjuvu okwebibi byaffe" x3
    ESSAALA EY'OKUBONERERA.
    Katonda wange mboneredde nnyo ebibi byenakola kuba gwe wali mulungi nnyo omwagalirwa ddala ate kuba nkyawa ebibi, nga mpereddwa enneema yo, nkomye kuno sigenda kukujeemera.
    Amiina
    Kitaffe ali Muggulu
    Mirembe Maria.......x3
    "Nyaffe ajjudde obusaasizi, jukizanga emitima gyaffe okubonaabona kwa Yezu mu bulumi obw'omusaalaba"
    OKUBONABONA OKUSOOKA
    OKULANGA KWA SIMEO.
    Bikiira Maria asingira Katonda omwana we omu yekka mu kiggwa omukadde omutukuvu Simeo n'amugamba nti, "Laba ono ateekedwawo ku lw'okuzikirira ne ku lw'okuzuukira kw'abangi mu Israel era aliba kabonero ke banawakanyanga, naawe omutima gwo ekitala kirigufumita"
    Mu bigambo bino mweyayita okulanga okubonaabona okuyitirivu era n'okufa kw'omwana we.
    Ebiwundu ebya Yezu, Ayi Maria obyolanga mu Myoyo gy'abaana bo.
    Kitaffe ali mu Ggulu......
    Mirembe Maria..........x7
    "Nyaffe ajjudde obusaasizi........."
    OKUBONAABONA OKW'OKUBIRI.
    OKUBUNGIRA EMISIRI.
    Bikiira Maria yeesanga nga alina bulina okubungira e Misiri okusobola okutaasa Yezu ekiyigganyizo kya Kabaka Erode eyali ayagala okumutta.
    Ebiwundu ebya Yezu.......
    Kitaffe ali mu Ggulu......
    Mirembe Maria..........x7
    "Nyaffe ajjudde obusaasizi.........."
    OKUBONAABONA OKW'OKUSATU
    OKUBULA KW'OMWANA YEZU.
    Bikiira Maria nga ag'enze ku mbaga ya Paska mu kiggwa yabulwa amayitire g'omwana Yezu, era kumalira ddala enaku satu nnamba nga ajjudde okunyolwa, yamumagamaga buli awasoboka nga bali wamu ne Yoozefu.
    Ebiwundu ebya Yezu........
    Kitaffe ali mu Ggulu.......
    Mirembe Maria...........x7
    "Nyaffe ajjudde obusaasizi..........."
    OKUBONAABONA OKW'OKUNA
    BIKIIRA MARIA ASISINKANA OMWANA WE NG'AFAABINA N'OMUSAALABA.
    Bikiira Maria asisinkana Yezu nga ayolekedde ku Kalivario nga yettisse omusaalaba omuzito ennyo kweyali ali okumpi okukomererwa olw'okutununula.
    Ebiwundu ebya Yezu.....
    Kitaffe ali mu Ggulu......
    Mirembe Maria.........x7
    "Nyaffe ajjudde obusaasizi......."
    OKUBONAABONA OKW'OKUTAANO.
    BIKIIRA MARIA YALIWO MU MAKOMERERA GA YEZU.
    Bikiira Maria yali kumpi n'omusaalaba gwa Yezu, n'olwekyo obuswandi bw'obulumi bw'omwana we afa bwamusenserera ddala mu busomyo.
    Ebiwundu ebya Yezu......
    Kitaffe ali mu Ggulu.......
    Mirembe Maria.........x7
    "Nyaffe ajjudde obusaasizi........"
    KUBONAABONA OKW'OMUKAAGA
    BIKIIRA MARIA ALERA OMUBIRI GW'OMWANA WE OGUWEDDEMU OBULAMU.
    Bikiira Maria yaliwo nnyo mu kadde akazibu nga basogga effumu mu mutima gw'omwana we ate oluvanyuma n'akkiriza okulera omubiri gwe ogutakyalimu kagamba.
    Ebiwundu ebya Yezu.....
    Kitaffe ali mu Ggulu......
    Mirembe Maria.........x7
    "Nyaffe ajjudde obusaasizi........."
    OKUBONAABONA OKW'OMUSANVU
    BIKIIRA MARIA YALIWO MU MAZIIKA GA YEZU.
    Bikiira Maria yasenvula n'agoberera omulambo ogw'omwana we nga gutwalibwa ku ntaana era yaliwo nnyo nga ejinja eddene likulungulwa okuziba omulyango gw'entaana.
    Ebiwundu ebya Yezu.......
    Kitaffe ali mu Ggulu........
    Mirembe Maria...........x7
    "Nyaffe ajjudde obusaasizi........"
    OKUMALIRIZA.
    Mirembe Maria...........x3
    Kitaffe ali mu Ggulu......X3
    "Nyaffe ajjudde obusaasizi okubonaabona kwo kukuume nga kulamu mu mitima gyaffe"..........X3.
    TWEGAYIRIRE.
    Mirembe Maria ajjudde ennaku, Yezu omukomerere ali n'awe, Ye ggwe asaanidde okukwatirwa ekisaasaazi mu bakazi bonna ne Yezu omwana w'endayo asaanidde okukwatirwa ekisaasaazi, Maria Omutuukirivu Nnyina Yezu omukomerere, tufunyise ffe abaakomereza omwana wo, amaziga agokubonerera okutaliimu bukuusa kaakano ne mu kaseera ak'okufa kwaffe.
    Amiina.
    Mu linnya lya Patri ne lya mwana n'erya Mwoyo mutuukirivu.
    AMIINA🙏🙏🙏

ความคิดเห็น • 3

  • @NankingaFlorence-k7f
    @NankingaFlorence-k7f 6 วันที่ผ่านมา

    Mother of sorrows comfort my family

  • @margretnagadya5462
    @margretnagadya5462 ปีที่แล้ว

    Ayi maria nnyaffe tuwanjaga tusaba okubagizibwa,okuwonyezebwa,okuwanguzibwa no kulokolebwa mubyona okuvva gyoli kulwo'mwana so🙏🙏🙏

  • @prossykayimalukoweprincess2073
    @prossykayimalukoweprincess2073 ปีที่แล้ว +1

    Amiina, Mother Mary pray for us sinners